1 Timothy 4

Abayigiriza ab’Obulimba

1 aMwoyo Mutukuvu ayogera lwatu nti mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bagoberera emyoyo egiwubisa, n’enjigiriza ya baddayimooni, 2 bnga bawubisibwa obukuusa bw’abantu abalimba, ab’emitima egiri ng’egyasiriizibwa ekyuma ekyengeredde. 3 cAbo be baziyiza abantu okufumbiriganwa, era abagaana okulya ebyokulya ebimu Katonda bye yawa abakkiriza era abamanyi amazima, okubiryanga nga bamwebaza. 4 dKubanga buli kitonde kya Katonda kyonna kirungi, era tekizira, kasita kiriirwa mu kwebaza, 5kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda, n’okukisabira.

Omuweereza Omulungi owa Kristo Yesu

6 eBw’onootuusa ebigambo ebyo ku booluganda, onooba muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ng’oliisibwa n’ebigambo eby’okukkiriza, n’enjigiriza ennungi gye wagoberera. 7 fNaye enfumo ezitaliimu, ezitasaana kunyumizibwa, zeewalenga. Weemanyiizenga okutya Katonda. 8 gKubanga okumanyiiza omubiri kigasa katono, naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kuleeta essuubi ery’omu bulamu buno era n’ery’obwo obugenda okujja. 9 hEkigambo ekyo kyesigwa era kisaana okukkiririza ddala. 10Era kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga essuubi lyaffe liri mu Katonda omulamu, Omulokozi w’abantu bonna, na ddala abakkiriza.

11 iLagiranga ebyo, era obiyigirizenga. 12 jWaleme kubaawo muntu n’omu akunyooma olw’obuvubuka bwo, naye mu kwogera ne mu bikolwa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu bulongoofu beeranga kyakulabirako eri abakkiriza. 13Nyiikiranga okusomera abantu Ebyawandiikibwa mu lwatu n’okubuuliriranga, n’okuyigiriza okutuusa lwe ndijja. 14 kTogayaaliriranga ekirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa mu bunnabbi abakadde bwe baakussaako emikono gyabwe.

15Ebyo biteeke mu nkola, era bissengako omwoyo, bonna balyoke balabe bwe weeyongera okukola obulungi. 16Weekuumenga mu mpisa zo, ne mu by’oyigiriza era obinywerereko. Bw’onookola bw’otyo olyerokola ggwe wennyini, era n’abo abakuwulira.

Copyright information for LugEEEE